Ruth 4:4

4 aNdowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”

Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”

Copyright information for LugEEEE